• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Kiwanda atutte ekya Buganda, Kadaga nawangula Namuganza

Gambuuze by Gambuuze
August 21, 2020
in Amawulire
0 0
0
Kiwanda atutte ekya Buganda, Kadaga nawangula Namuganza
0
SHARES
16
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Minisita Namuganza ne Rebecca Kadaga ababadde ku mbiranye

Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga awangudde Persis Namuganza, minisita w’eby’ettaka neyeddiza ekifo ky’Omumyuka wa ssentebe  ow’okubiri owa  bakyala  ow’ekibiina ki National Resisitance Movement (NRM) ate ne Minisita Godfrey Kiwanda nawangula ekya Buganda.

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Dr. Tanga Odoi, amakya ga leero alangiridde nga Kadaga bwafunye obululu 6,776  nawangula Namuganza eyafunye obululu 3,882. Ababiri bano nga bonna basibuka mu kitundu ky’e Busoga babadde ku mbiranye, nga Namuganza alumiriza Kadaga obutassa kitibwa pulezidenti Museveni era Ssentebbe w’ekibiina.

Namuganza yategeezza nga Kadaga bwakwatagana ne Opozisoni mu palamenti okuleeta ebiteeso ebisiiga ekibiina ki NRM enziro ate nga Kadaga alumirizza nga Namuganza bwaleeteddwa  abamulwanyisa munda mu kibiina ki NRM abawakkanya engeri gyatambuzzaamu palamenti.

Ekifo kya Ssentebbe w’ekibiina mu Buganda ekibaddemu Hajji Abdul Nadduli, kyatwaliddwa Godfrey Kiwanda Ssuubi eyafunye obululu 4,749 nawangula Moses Karangwa Kalisa eyafunye obululu 3,701. Abalala ababadde mu lwokaano  Kiganda Twaha Ssonko yafunye  obululu 1,048,  Mayengo Moses nafuna 127 ate Magaro John nafuna 675. 

Omumyuka wa Sipiika Jacob Oulanyah yawangudde Col. Sam Engola okufuuka Ssentebe mu mambuka. Oulanyah yafunye obululu 7,473 ate Engola nafuna 1,665, ku kifo kyekimu Timothy Okee Jokene yafunye obululu 895,  Dr Odongo Oledo  nakungaanya obululu 277. 

Mu Ankole, Dr. Chris Baryomunsi yalondeddwa Ssentebe bwafunye obululu 5,947 ate Munnamajje Maj. Gen Matayo Kyaligonza nafuna obululu 2,550,  kifo kino Florence Kintu Tumwine yafunye 1,875, naddirirwa Muhangi Wilberforce  n’obululu 1,255, Boaz Kafuda yakutte kya kutaano n’obululu 602 ate Dr Diini Kisembo nasembayo n’obululu 224. 

 Ssentebe w’ekibiina  mu Kampala kati ye  Katongole Singh Marwaha bwawangudde Amooti Godfrey Nyakana. Singh yafunye obululu 4,503 nga Nyakana nafuna 2,466. 

E Karamoja Simon Peter Aleper yasigazza ekifo kino ku bululu 8,143 ate abadde amuvuganya Lokor Jimmy  nafuna 2,220. 

Captain Mike Mukula naye yawangudde Sanjay Tana okufuuka ssentebe w’ekibiina mukitundu ky’e Buvanjuba.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist