Minisita w’ettaka, obulimi, n’obutonde bw’ensi mu Bwakabaka Oweek. Hajati Mariam Mayanja Nkalubo akubirizza abantu ba Kabaka okunyweza obusenze ku Ttaka nga bafuna ebiwandiiko ebituufu ku ttaka lyabwe.
Okwogera bino abadde aggalawo omusomo gw’Abalimisa b’emmwanyi mu Buganda ogubadde guyindira e Luwero mu Bulemeezi.
Minisita Mayanja yasiimye Ssaabasajja okulengerera ewala naleeta enteekateeka ya Kyapa mu ngalo eyambye abantu ku Ttaka lye okunyweza obusenze bwabwe.
Yakunze abantu abalala abatali ku ttaka lya Kabaka okutuukirira bannanyini Ttaka okuwa obusuulu n’okufuna Liizi ku ttaka kwebali nga batuukirira bannyini lyo.
“Obuzibu bwonna ku mmwanyi buli ku miwendo naye omutindo gwegukola obutale,” Mayanja bweyategeezezza.
Mayanja yalaze okunyolwa olwa baganda obutayagala kuyambagana nasaba bazzeewo era banyweze ebibiina by’obweggasi nga Ssaabasajja Kabaka bweyalagira gyebuvuddeko.
Abasabye bakozese emiti ginnaasangwa okulamba ebibanja byabwe webiyita ate nga bijja kubayamba okukuuma obugimu n’obutonde bwensi.
Yeebazizza
Yebazizza banna mikago omuli Uganda Coffee Development Authority ne Private Sector Foundation abakwatizaako Obwakabaka okubunyisa enjiri y’okulima emmwanyi n’ekigendererwa ky’okugoba obwavu mu bantu.
Abeetabye mu musomo baweereddwa satifikeeti olw’okwetabamu.
Omusomo guno gwa ggulwawo Katikkiro ku lw’okubiri lwa wiiki eno era yakubiriza abalimisa okusomesa abantu engeri gyebalina okulimamu emmwanyi n’okuzidabulula nga zikaddiye.