Bya Gerald Mulindwa
Namirembe
Katikkiro Charles Peter Mayiga yagambye nti, abavubuka bangi ensangi zino batya obufumbo kubanga bagala nnyo eddembe lyabwe nebeerabira nti ekiwoomereze kizaala enkenku.
“Eddembe abavubuka lye bagala livaako ebizibu, naye obufumbo kikolwa kya buvunaanyizibwa era nga kireeta okwesigibwa,” Mayiga bweyategeezezza.
Kamalabyonna yanyonyodde nti, obufumbo bulaga obuvunaanyizibwa era n’okuleetawo obwesige mu bantu naddala eri oyo abeera afumbiddwa.
Bino Kamalabyonna yabyogeredde ku mukolo gw’okugatta omukiisie w’olukiiko Oweek. Isaac Mpanga n’omwagalwa we Catherine Nabukeera ku kkanisa ya ‘Seventh Day Adventist Church e Najjanankumbi ku Lwokuna.
“Obufumbo bugwera mu lukomera ate abavubuka bangi tebalwagala naye bwobeera kyetwala tosobola kukola bya buvunaanyizibwa era ekikuyamba okuzimba obulamu bwo n’okussa ettofaali ku bulamu bwe bwebutabeera kyetwala,” Katikkiro Mayiga bweyategezezza
Oweek. Mpanga ye Ssentebe w’AKakiiko k’eby’amateeka mu Lukiiko lwa Buganda.
Ssaabaminisita Ruhakana Rugunda yeebazizza abagole olw’okutuukirizza obweyamo bwabwe era nabasaba bakuumagane.
Omusumba eyagasse abagole Paul Mumbere, yasabye abagole bulijjo okusoyiwagana nga waliwo ebisobye era beewe ekitibwa.
Omukolo gwetabiddwako Ssaabaminisita wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda, Ssaabawolereza w’Obwakabaka Owek Christopher Bwanika, Minisita w’emirimu Egy’Enkizo Owek David Mpanga n’abakungu abalala bangi.