Abantu 2 abalala bafudde ekirwadde ki COVID19 ekituusizza omuwendo gw’abakafa ku bantu 11 mu ggwanga lyonna.
Ekiwandiiko ekivudde mu minisitule y’ebyobulamu etegeezezza nga abafudde bombi bwebabadde mu ttundu ttundu lya Kampala n’emirilaano.
Ku bano kuliko omukadde ow’emyaka 60 nga munnayuganda Omuyindi era nga yafiridde mu ddwaliro lya International Hospitala mu Kampala.
Omulala, musajja atemera mu myaka 55 era nga munnayuganda nga ono yafiridde mu ddwaliro ekkulu e Mulago.
Ekiwandiiko kiraga nti abantu abalala 21 kwabo 4,108 abakebereddwa ku Lwokusatu basangiddwa n’ekirwadde ki COVID19.
Abantu 8 ku bano baddereva ba bimotoka ebitambuza ebyamaguzi okuva e Kenya nga biyita ku nsalo y’e Malaba.
Abasatu kwabo abalina ekirwadde kino baliko n’abalwadde ba COVID19 mu Kampala n’emirilaano, omu munnayuganda eyavudde e South Sudan ate nga abalala bagyiddwa mu bitundu eby’enjawulo oluvanyuma lw’okubekengera.
Wetwogerera abalwadde bali 1,353 cases ate nga abantu be bamaze okusiibulwa 1,141 oluvanyuma lw’okuwona.
URN