Bya Musasi waffe
Kasese
Poliisi e Kasese ekutte bannakibiina ki ’National Unity Platform (NUP)’ eky’omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu ne bannamawulire 4 mu kitundu kino.
Abakwatiddwa kuliko Sam Baluku nga ye mukwanaganya wa NUP mu disitulikiti eno. Abalala ye; Walid Mako nga bano babadde bategeka kutongoza wofiisi za NUP e Nyakasanga mu Munisipaali ye Kasese.
Abalala ababadde bakwatiddwa be bannamawulire 4 mukitundu kino wadde nga bano oluvanyuma bayimbuddwa.
Omu ku bateesiteesi b’ekisinde ki ‘People Power’ mu kitundu kino Innocent Kiiza, yategeezezza nti bano bakwatiddwa mu kaseera nga banaatera okuggulawo wofiisi zabwe bazirage bannamawulire.
“Tukyali ku poliisi nga tulinda okutubuulira ekyakwasizza bannaffe,” Kiiza bweyategezezza.
Ate nga abatwala poliisi mu Kasese okuli omudduumizi we Kasese n’atwala poliisi mu kitundu kino bategeezezza nti bajja kuyita olukungaana lwa bannamawulire babategeeze ebisingawo.
Okukwatibwa kw’aba NUP kuzze nga bannakibiina kya NRM mu kitundu kino bakamala okwanjula ekibinja ky’abavubuka abanaabayamba okunoonya akalulu ka 2021.