Musasi waffe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II evumiridde ebikolwa by’abakuuma eddembe mwebatwalira amateeka mu ngalo ng’oluusi kiviiriddeko okufa kw’abantu.
Bwabadde mu Lubiri lwe olw’e Mmengo ng’Obuganda bujaguza nga bwegiweze emyaka 27 ng’atudde ku Nnamulondo y’abajjajjabe alamula, Omuteregga yategeezezza nti singa omuntu aba alina omusango ogumuvunaanibwa, kisaana atwalibwe mu mbuga avunaanibwe.
“Abakuuma eddembe mu bitongole bingi ebya gavumenti beenyigidde mu lutalo lwa Covid-19 nga bagezaako okukwasisa ebiragiro bya gavumenti, naye abamu nebakozesa amaanyi era n’obukambwe obuyitiridde ekiviiriddeko n’abantu abamu okufa era n’okulumizibwa mu ngeri ezitali zimu. Buli muntu alina eddembe ery’obwebanga. Abantu bwebaba tebagoondedde biragiro, kyadibadde kirungi batwalibwe mu mbuga z’amateeka bavunaanibwe emisango era nga gibasinze balyoke bakangavvulwe mu ngeri esaanira,” Kabaka bweyagambye.
“Naye kikyamu omukuumi w’eddembe ate okuwa ekibonerezo naddala eky’okufa nga abantu tebatwaliddwa mu kkooti,” Kabaka bweyagambye.
Kabaka era yenyamidde olw’obwavu obuyitiridde mu bantu naddala abavubuka n’agamba eddaggala lyokka liri limu lya kugabana obuyinza.
“Ebyenfuna n’ebyobufuzi byagenderanga wamu era Buganda okuddayo mu mbeera yaayo kisaana ensonga eno ekolebweko.”
Kabaka asabye abavubuka obutaggwamu ssuubi mumbeera eno.
Omuteggga yasaasidde nnyo ab’oluganda lw’omuvubuka eyeeyokera ku Poliisi e Masaka olw’okuwamba boda boda ye.
“Ekikolwa kya Walugembe kiraga okuggwamu essuubi, tukiddinganye lunye nti omulembe Omutebi gwa’abavubuka. Tujja kulwana bwezizingirire okulaba nti abavubuka tebaggwamu ssuubi,” Kabaka bweyagambye.
Ku lulwe, Katikkiro wa Buganda Oweek. Charles Peter Mayiga yeyaanzizza Beene olw’ebituuukiddwako mu myaka 27 gy’amaze ku Nnamulondo.
Katikkiro era yayanjulidde Kabaka abantu bataano beyasiima okuwa amayinja ag’omuwendo.
Mu bano kuliko Dr Paul Kawanga Ssemogerere, John Johns Ayakuze, Prof. Josephine Nambooze Kiggundu, Sheikh Rajab Kakooza wamu ne Cannon Samuel Kasujja.
Omukolo ogwetabiddwako abantu abatono ennyo olw’ekirwadde kya Covid-19.
Mubano mwabaddemu omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Lord Mayor wa Kampala Erias Lukwago. Minisita Judith Nabakooba, ba Katikkiro abawummula; Joseph Mulwanyammuli Ssemogerere, Dan Muliika, John Baptist Walusimbi saako abantu abalala.