Eyaliko ssentebe wa kakiiko k’ebyokulonda Eng. Badru Kiggundu alondeddwa nga ssentebe a boodi y’ekitongole ky’amazzi ne kazambi ekya National Water and Sewerage Corporation (NWSC).
Kiggundu adidde Dr Eng Christopher Ebal
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku mawulire Peter Ogwanga ategeezezza nti Kiggundu yakakasiddwa kabineeti mu lutuula lwayo olwa Mande wiiki eno.
Ate ye omubaka mu palamenti y’amawanga g’obuvanjuba Dan Kidega yalondeddwa okubeera memba wa boodi eno.
Kigggundu yaabadde akulira akakiiko akalabirira enzimba ya daamu ya Isimba.
URN