Musasi waffe
Benjamin Mkapa eyali pulezidenti wa Tanzania afudde. Ono yafiiridde mu ddwaliro e Dar el Salam gyamaze akabanga ng’tawanyizibwa obulwadde obutaayatuukiribbwa.
John Pombe Magufuli, Pulezidenti wa Tanzania aliko kati yategeezezza nti okufa kwa Mkapa ddibu ddene nnyo eri Tanzania.
Magufuli yalangiridde ennaku musanvu ez’okukungubaga.
Mkapa yafuga Tanzania okumala emyaka 10 wakati wa 1995 ne 2005.
Ono ngatannafuuka Pulezidenti yaweerezaako mu bifo ebyenjawulo omuli minisita wamu n’okuba munnamawuire wa Pulezidenti Julius Nyerere.