Minisitule evunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru erangiridde nti yakuddamu okuleeta bannayuganda abakonkomalidde mu mawanga amalala olwekirwadde kya coronavirus.
Enteekateeka eno yayimirizibwa ssabiiti bbiri emabega.
Gavumenti yayimiriza enteekateeka eno olw’omujjuzo bubifo awakuumirwa abantu abaakatuuka mu ggwanga biyite kalantiini centre.
Gavumenti yali yassaawa ebifo bino 37 nga bisuubirwamu abantu 2500.
Newankubadde nga minisitule y’ebyobulamu yali esuubira abantu 300 buli wiiiki bbiri, abantu 100 bayiika mu ggwanga mu wiiki emu yokka.
Abantu abalala 1000 bakyakonkomalidde mu mawanga amalala.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulimiziddwa minisitule y’ensonga z’e bweru, kyategeezezza nti batereezezza embeera abantu mwebagenda okubeera nga bazze.
Bannayuganda abalala basuubirwa okutuuka mu ggwanga nga July 18.
Minisitule yasuubizza okuzza kuno Bannayuganda bonna abakyakonkomalidde ebweru.
Bannayuganda okuva e South Africa, Turkey, India, United Kingdom, Switzerland, Italy ne United Arab Emirates bebaakomezeddwawo kuno nga bonna bateekebwa mu kalantiini okumala ssabbiiti bbiri.
URN