
Ebizimbe ebikunukkiriza mu 50 bimaze okutuukiriza ebiragiro bya gavumenti ku kwetangira ekirwadde kya coronavirus era bisuubirwa okuggulibwawo.
Gavumenti eremezza omugalo ku bizimbe by’omu Kampala ng’egamba nti tekisoboka kussa mu nkola ebiragiro bya tonsemberera.
Okusinziira ku mukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, ebizimbe bingi mu Kampala n’okwetooloola eggwanga bijjudde akanyigo era nga kyangu obulwadde okusaasaana.
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala Betty Amongi yagambye ebizimbe 48 byatuukirizza ebiragiro bino.
Mu bizimbe bino mulimu; Mukwano Arcade, Modern complex, Grand Corner Plaza, Arua Park Plaza, Arua Park Annex, Magoba Shopping Mall, Mega Plaza, Sekaziga House, Teddy’s Plaza, KK TRUST, Ham Shopping Grounds, Nabugabo Arcade, Avemar Shopping Centre, Kampala Plaza, Trust Arcade, E-M Plaza ne Galilaaya Shopping Centre.
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’obusuubuzi, Amelia Kyambadde ategeezezza olukiiko olwetabiddwamu bannanyini bizimbe bino nti byakuggulwa obutasukka Lwakutaano wiiki eno oluvannyuma lw’okwebuuza ku mukulembeze w’eggwanga.
Ebimu ku kitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ekya KCCA byekyetaaga kwekuba nga ekizimbe kirina akasenge omunaakumirwa abantu abateeberezebwa okuba nga bafunye ekirwadde kya coronavirus.
Bano era baagala ebizimbe bibeere ne kamera ku buli mwaliiro, okuba n’obuuma obukebere ebbugumu, okuba nawanaabirwa engalo n’ebirala.
Akakiiko kaalamabula ebizimbe 89 kyokka ku bbyo 37 tebyalina bisaanyizo bibisobozesa kuggulawo era byakusigala nga biggale.
Mu bino mulimu, Qualicel Bus Terminal, Moonlight arcade, Kalungi Plaza, Printers House, Boost complex, Supervisor complex, Katikati complex, JBK plaza, Park View Shopping Centre, Namaganda Plaza, Silver Arcade, Park Enkadde, ne Peoples Plaza.
Sudhir Ruparelia, omu kuba sinza ebizimbe mu Kampala yategeezezza nti okubiggula kirungi kubanga bannayini byo babadde bagezezzaako okugondera ebiragiro bya gavumenti.
Ku makya galeero poliisi ekubye amasasi n’omukka ogubalagala okusobola okugumbulula bannanyini bizimbe ababadde bagezaako okubiggula nga gavumenti tennabakkiriza.
Wammanga by’ebizimbe ebigenda okuggulibwa:
Mukwano Arcade, Modern Shoplex, Grand Corner Plaza, Arua Park Plaza, Arua Park Annex, Magoba Shopping Centre, Mega plaza, Sekaziga House, Teddy’s Plaza Prism, E Tower, Kampala Plaza Shauriyako Original, Bulamu Bwebugagga, Ssembatya Arcade, Plot 15 A and B, Kabala Shopping Arcade, Avema Shopping Center, Nambusi Arcade, Kisa Kya Mukama, Eagle plaza Galiraya, Discovery plaza, Capital Center, Gadith, House William, Ham Shopping ground, E-M plaza, Royal Plaza, Hanifa Towers, Yamaha Center, Zai Plaza, Jjemba Plaza, Sky shopping arcade, Dembe arcade, Trusted arcade, Gaggawala Shamba Complex, Apple plaza, Kisekka Auto Center, KK trust, Vinco Arcade, Byamugisha Ben, Angels arcade, Zebra House, Nabugabo Business Center, The Arcade, Light Arcade, Market Plaza.
Ebitannakirizibwa
Complex Superior Complex, Katikati complex, Arrow complex, Peoples plaza, Park Enkadde Mall, Annet Plaza, Silva Plaza, Nagatule plaza, JBK Plaza, Temuseo Mpoza plaza, Namaganda plaza, Park View Shopping Center, Maria’s Galleria, Universal House, California Plaza, City Center Complex, Totala Business Center, Gazaland, Printers House, Royal complex, Nakasule, Zibula Atudde, Katonga Business Center, Haider Plaza, Kalungi Plaza, Victor Nana arcade, Qualicel Bus Teminal, French Plaza, Nasser Road Mall, Dembelyo House Moonlight arcade ne Sal House.








