Bya Kanaakulya Peter
Olwaleero, omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano Moses Kafeero ng’ali wamu ne basajjabe basiibye batalaaga katale ka St Balikuddembe okusobola okuwayaamu n’abasuubuzi.
Okulambula kuno kubadde kugendereddwamu kutema mpenda kubutya bwebasobola okukkirizibwa okuddamu okukola.
Ono asuubizza abasuubuzi b’engoye mu katale kano nti bajja kuddamu okukola naabasaba okuba abakkakkamu.
Gyebuvuddeko abasuubuzi b’engoye mu katale ka St.Balikuddembe baalajanira bekikwatako okuli ne pulezidenti Museveni okubakkiriza okuddamu okukola oluvannyuma lw’okusanga emaali yabwe yonna nga eyonoonebbwa enkuba.
Nga balaga obutali bumativu bwabwe baanokoddeyo ekyabakuumaddembe okubagaana okukebera ku maali yabwe ekibaleetedde okufirwa.
Oluvannyuma lw’okogeramu n’abasuubuzi, Kafeero yeeyongeddeyo mu wofiisi ya ssentebe wa katale, Kayongo NKajja nebeevumba akafubo wamu n’abasuubuzi abamu.
Kafeero mukwogera kwe, yasiimye abasuubuzi olw’okugoberera amateeka g’ebyobulamu era naabasaba okuba abakkakkamu kubanga ensonga zabwe zigenda kukolwako.
Yasabye abasuubuzi mu katale kano okukolagana nabasirikale abali mu katale kano okusobola okutuukiriza omulimu gwabwe.