Bya Kanaakulya Peter
Ab’obuyinza mu kitongole kya Kampala Capital City Authority [KCCA] bazinzeko e Kikuubo mu Kampala okukwata abasuubuzi ababadde batundira ku nguudo.
Bino okubaawo kidiridde omujjuzo gwa basuubuzi abeeyiwa mukifo kino ngate tebagoberera biragiro ebyatekebwaawo minisitule y’ebyobulamu kukwewala okusaasanya akawuka ka coronavirus.
Abakwasi b’amateeka okuva mukitongole kya KCCA nga bayambibwako abasirikale ba poliisi baawambye ebintu bya basubuuzi abatalina webakolera okusobola okukendeeza ku mujuzo guno.
Akulira abasubuuzi mu Kikuubo Muhammad Katimbo yategeezezza nti abantu bangi babade beeyongede okweyiwa mu Kikuubo kyokka nga tebagoberera biragiro ebyateekebwawo.
Ssentebe w’ekyalo kino Shauriyaako B, Bashir Muwonge yawakanyizza engeri ab’obuyinza gyebaakuttemu abantube.
Yagambye baabadde bagezaako kwenoonyeza kyakula.
Ono naye yakwatiddwa naatwalibwa ku poliisi.