Bya Kanaakulya Peter
Meya w’ekibuga ekikulu ekya South Korea, Seoul, Park Won-soon yalangiridwa nti yabuzidwawo.
Kino muwala yakitegeezezza ab’obuyinza era nabakozi mu wofiisi ye nabo ne bakakasa nti omukungu ono teyalabiseeko ku mulimu.
Poliisi y’eggwanga lino yakedde ku kola kaweefube w’okuyigga omukulu ono.
Ab’obuyinza mu ggwanga lya South Korea kunkya yaleero bakakasizza amawulire gano era enteekateeka z’okunoonya omukungu ono zikyagenda mu mumaaso.
Meeya Prak Won-Soon yasooka kulondebwa ku bukulu buno mu 2011 era naddamu okulondebwa mu mwaka gwa 2019 nga guno gwe mulundi gwe ogusembayo okulondebbwa mu kifo kino.
Omusajja ono munamateeka era mulwanirizi weddembe ly’obuntu.
Kiteeberezebwa nti wakwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu mwaka gwa 2022.








