Musasi waffe
Poliisi ya Uganda ekutte abantu musanvu okuli n’abakuumi ku banka ya Centenary ku biteeberezebwa okuba nti beenyigira mu kutta Emmanuel Tegu, abadde omuyizi ku ssettendekero w’e Makerere.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga yategeezezza bannamawulire mu Kampala nti Tegu nga abadde asoma busawo bwa bisolo yakubibwa emiggo ng’ennaku z’omwezi 27 June oluvannyuma lw’okusangibwa mu ssenttedemkero ono ekiro ku saawa nga nnya.
Ono abasirikale baagezaako okumubuuza kyakola mu ssettendekero essawa ezo kyokka yabaanukuza mayinja.
Bagezaako okumukwata naye naddukira okuliraana Ekereziya ya St Augustine eri mu ssettendekero ono.
Abakuumi abakuuuma bbanka ya Centenary eno gyebaamulowooleza okuba omubbi nebamukuba mizibu wamu n’okukuba enduulu eyasomboola abantu abalala.
Bano nabo beegatta mu kukuba era ng’ekyawonya Tegu y’omu ku bakansala mu kitundu okukubira poliisi y’e Makerere eyamutwala mu ddwaliro e Mulago.
Ono e Mulago yamalayo bbiri naasiibulwa kyokka embeeraye yeyongera okuba obubi era naafa nga July 3.
Enanga agamba nti nfa y’ono terina kwakwate kwonna ku poliisi oba ebitongole ebyebyokwerinda ebirala.
“Abantu baagala nnyo okuyingizaamu eb’ebyokwerinda naye twagala okutegeeza eggwanga nti teri musirikale waffe yenna yenyigira mu kutta Tegu,”Enanga bweyagambye.
Okufa kw’omuyizi ono, kuwezezza omuwendo gw’abantu abasukka mu 10 abaakattibwa bukyanga muggalo ngulaangirirwa ku nkomero y’omwezi gw’okusatu.