Poliisi ekoze enkyukakyuka mu basirikale baayo abakessi n’ebajja mu bifo ebimu okubazza mu birala.
Abakyusiddwa bali 38.
Mu kiragiro ekyayisiddwa Assistant Commissioner wa Poliisi, Emmanuel Muheirwe, abakyusiddwa batwaliddwa mu Poliisi eziri wabweru wa Kampala.
Kubano, 10 bali kuddaala lya Inspector of Police- IP ate abasigadde 28 bali ku ddaala lya Assistant Inspector of Police -AIP.
Abamu ku bakyusiddwa kuliko Martin Tukahebwa aggyiddwa e Ntinda Police Station naatwalibwa e Bundibugyo, Wilson Wenamanya aggyiddwa e Kisoro naatwalibwa e Bwera, Abel Twijukye aggyiddwa Isingiro naatwalibwa e Katwe- Kabatooro, Enock Atukunda aggyiddwa e Rukungiri natwalibwa Hima, Henry Emuron aggyiddwa e Kira Division naatwalibwa e Adjumani.
Abalala kuliko, Nicholas Onyango aggyiddwa e North West Nile naatwalibwa ku kitebe y’obunoonyereza bw’obuzzi bw’emisango e Kibuli, William Muhindo aggyiddwa e Rukungiri naatwalibwa e Kitagwenda, Samuel Kakimu aggyiddwa e Bugiri naatwalibwa ku kitebe kya Poliisi ekya Busoga East Region, ate ne Rogers Byamukama aggyiddwa e Njeru naatwalibwa e Kyegegwa.
Ekitongole ky’obunonyereza ku buzzi bw’emisango kirina okumanya ku buzzi bw’emisango nga tebunnabaawo wabula ennaku zino abazzi b’emisango baluka enkwe zaabwe neziyitamu nga Poliisi tetegedde.
Ekitongole ekinonyereza kikulirwa ACP Thomas Kasiimo.
URN