Ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala, KCCA, kyakuwandiisi ddereeva omulala ku buli takisi mu nteekateeka yakyo gyekiriko.
Okusinziira ku minisita akola ku by’entambula Gen. Edward Katumba Wamala, bakkiriziganyizza nti buli takisi ebeeko abagoba babiri.
Enteekateeka eno weyatandikira ku nkomerero y’omwezi gwa May, KCCA yawandiisanga omuntu omu okumuwa ennamba wamu n’oluguudo lwagenda okuvugirako takisi, ekintu ekyakaayanya ennyo abavuzi.
Bano beemulugunya nti takisi emu teyinza kuvugibwa muntu omu olunaku lwonna nga bagamba waliyo omuntu lwalwala oba lwakoowa ennyo nga tasobola kuvuga.
Kyokka Katumba wamala agamba nti tekirina buzibu kuwandiisa ddereeva mulala singa ab’alina ebisaanyizo ebimukkiriza okuvuga emmotoka.
Mustafa Mayambala akulira ekibiina ekigatta abavuzi ba takisi ekya Uganda Transport Development Agency agamba nti enteekateeka eno egenda kubasobozesa baddereeva okuwummulamu wamu n’okuwa emirimu abantu abalala.
Kyokka abavuzi ba takisi abamu baagambye nakino tekimatiza bulungi kubanga waliyo ba ddereeva abatalina takisi zaabwe nga bano essaawa yonna baweebwa omulimu oyo yenna aba abeetaaze.
Bano bagamba nti buli muvuzi wa takisi yenna yandibadde awandiisibwa.
Minisita omubeezi atwala KCCA, Benny Namugwanya agamba eno yeemu kunsonga ezijja okutereezebwa ng’eteekateeka eno egenda mu maaso.
Yagaambye ekirungi route bulyomu gyaweereddwa eggwako mu December omwaka guno.
URN