Poliisi mu disitulikiti y’e Luweero egadde obutale busatu lwa kulemererwa kussa mu nkola ebiragiro kukutangira ekirwadde kya COVID-19
Obutale obuggaddwa kuliko aka Balikyejjusa, Balikyewunya ne Wobulenzi.
Buno obutale bwa kumakubo era abasuubuzi batunda ebintu nga amenvu, emiyembe, kasooli ennyama n’ebirala nga basinga ku biguza batambuze.
Abapoliisi nga bakulembeddwamu abakulira mu disituliki y’e Luwero, Abraham Tukundane baazinzewko obutale buno olwa leero, nebawa ababukoleramu eddakiika 15 okubwamuka bunnambiro ekitali ekyo, bagyibwemu lwampaka.
Tukundane yagambye akakiiko akalwanyisa ekirwadde kino mu disitulikiti kasazeewo okuggala obutale buno kubanga bagezezzaako okulagira ababukoleramu okussa mu nkola ebiragiro bya pulezidenti ne minisitule y’ebyobulamu kukuziyiza okusaasaana kw’ekirwadde naye nga buteerere.
Ono yagambye nti abasuubuzi baagaana okwambala mask, okwewa amabanga oba okukozesa sanitizer oba okunaaba mungalo.
Abasuubuzi beemulugunyizza nti ekiragiro kino kyapapiddwa okussibwa mu nkola ekyabaviiriddeko okufiirwa ebintu byabwe.
Shaban Muluuta akulira abatunda amenvu mu katale ka Balikyewunya agamba baabadde baguze amenvu gaabwe era kati gonna gagenda akuvunda.
Ye Aisha Namukaaya agamba naye yabadde aguze amenvu ga mitwalo asatu naye gonna gagenda kuvunda era boolekedde okufiirizibwa.
Phoebe Namulindwa omubaka wa gavumenti e Luweero agamba nti akimanyi abantu bagenda kufiirizibwa naye kino kisingako okukwatibwa ekirwadde kya coronavirus.
Disitilikiti y’e Luweero tenazuulibwamu alina kirwadde kya coronavirus okujjako abavuzi b’ebimotoka ababiri abataayizibwa mu kitundu kino.
Abalwadde ba coronavirus mu Uganda baweze 702.
URN