Kkooti enkulu eragidde Ssettendekero w’e Makerere okuzza Nalongo Dr Stella Nyanzi ku mulimu gwe, oluvannyuma lw’okukizuula nti baali baamenya mateeka bwebaagaana okumuzza mu kifo kye bweyawangula omusango mu kakiiko akakola ku nsonga z’abakozi.
Omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe yagambye nti Makerere erina okuliyirira Nyanzi obukadde 120, emukuze okutuuka ku ddala lya Senior Research Fellow, emusasule ssente zonna ez’omusaala wamu n’okumuddiza omulimu gwe.
Akakiiko akamanyiddwa nga Staff Tribunal akakola ku nsonga z’abakozi mu 2018 kaalagira abakulira Makerere okuzza Nyanzi ku mirimu gye kweyali agobeddwa olw’enkayaana zeyalina n’akulira Makerere University Institute of Social Research, Prof. Mahmood Mamdani ezaaviirako Nyanzi n’okweyambula.
Ng’ayita mu munnamateekawe, Isaac Ssemakadde, Nyanzi yagamba okumugoba tekwali kwabwenkanya era nga kirinyirira eddembelye ng’omuntu.
Dr Nyanzi mukyala eterya ntama era agugulanye n’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni n’emukyalawe Janet ng’abavunaana okufuga obubi eggwanga.
Ono asibiddwa ekabanga akawerako olwensonga zino.
URN