Musasi waffe
Omukulembeze w’eggwanga Generali Yoweri Kaguta Museveni alagidde Ssaabawolereza wa Gavumenti wamu n’omuwaabi w’emisango gya gavumenti DPP, bate, abantu bonna abaakwatibwa olw’ojeemera ebiragirobye ku muggalo.
Bwabadde ayogerako eri eggwanga akawungeezi ka leero mu maka gw’obwapulezidenti e Nakasero, Museveni ategeezezza nti abakungube bakyebuuza era bwekunaaba kuwedde abantu 4000, abaakwatibwa ku misango egyenjawulo egyekuusa ku muggalo bonna bakuteebwa.
“Okuleka nga balina emisango emirala naye bonna bateebwe okuva mu makomera,” Museveni bwagambye.
Ebyo nga bikyaliyawo, Museveni era agambye nti abayizi sibaakuddayo kati oluvanyuma lw’okwebuuza ku bannasayansi mu gavumenti.
Ssaabbiiti nga bbiri emabega Museveni yategeeza nti abayizi abali mu bibiina ebya kamalirizo nga P7, S4, S6 n’abali mu massenttedndekero agawaggulu mu mwaka gwabwe ogusembayo nabo bateebwe baddayo okusoma.
“Bwetwatadde emmotoka z’obuyonjo, abantu beeyongedde mukibuga. KInaaba kitya ng’abaana abali akakadde kamu n’emitwalo ana, nga nabao bazzeemu okusoma,” Museveni bweyagmbye.
Ygasseeko nti gavuemnentiye erowooza kukyokuwa buli maka ttivvi oba leediyo okuosbozesa buli mwana okusoma.
Mu birala, Museveni azzemu okinoganya nti entambula ey’olukale yakuddamu okukola saabiiti eno kulwokuna.