Musasi waffe
Ssaabasajja Kabaka asiimye okuzza obuggya olukiiko lwa Buganda ng’ajjuza ebifo byaabo abaawummula Obwami ku mitendera egy’enjawulo, bwe batyo ne bava mu Lukiiko; abo abateetaba mu ntuula z’Olukiiko bwe batyo amateeka agafuga Olukiiko ne gabawanduukulula; oba abatufaako.
Olukiiko oluziddwa obuggya lukubirizibwa Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule nga Omumyuka ye Oweek. Ahmed Lwasa.
Olukiiko era lutuulamu ne Kabineeti ya Kabaka ekulemberwa Katikkiro Oweek. Charles Peter Mayiga.
Olukiiko era lutuulamu Abaami Abamasaza; Ababaka ba Ssaabasajja Kabaka; n’abakiise abakiikirira amasaza ag’enjawulo bwe bati:
Kyaggwe 8
Buddu 10
Busiro 8
Bulemeezi 8
Kyaddondo 8
Kabula 4
Busujju 3
Mawokota 4
Kooki 4
Ssingo 8
Buvuma 4
Ssese 3
Mawogola 3
Buweekula 4
Bugerere 6
Gomba 4
Buluuli 4
Butambala 4
Olukiiko era lutuulamu ababaka abakiikirira ebibiina by’abavubuka: Nkobazambogo5; Olukiiko lw’Abavubuka ba Buganda Ttabamiruka6: Ssuubi lya Buganda 7.
Olukiiko era lutuulamu ababaka abakiiikirira n’ebiti eby’enjawulo [ebifo 25] nga bye bino; Ebyenjigriza; Bannamateeka;Abalimi; Bayinginiya, Ababazi b’ebitabo; Abaliko Obulemu [Omwami n’omukyala] Ekibiina ky’Olulimi Oluganda; Abakozi; Abakozesa; Abasawo; Abasuubuzi; Bannamakolero; Amatendekero Agawaggulu, n’Abeebuuzibwako ebyekikugu.
Olukiiko era lulimu ababaka ba Ssaabasajja bana abakumaakuma abantu be wabweru wa Buganda mu bitundu bino Busoga; Ankole ne Kigezi, Bukedi; Bugisu ensi z’obuvanjuba bwa Africa.
Olukiiko era lutuulamu ababaka ab’enjawulo bana okuva mu mawanga ge tulina mu Buganda omuli Abanubbi, Abayindi; Abanyarwanda.
Olukiiko era lutuulamu ababaka ba Ssaabasajja 16 abakumaakuma abantu be mu mawanga ag’ebweru omuli Bungereza, Eswatini, Africa Eyamaserengeta[South Africa]Buswedi, North East Coast [USA] New England, Mid Atlantic, Mid-West, Rocky Mountain, West Coast, South California, Texas, South East America, Canada, Y=United Arab Emirates, West Coast North America.
Omugatte gw’Abakiise bonna guli 208.
Ssaabasajja Kabaka asiimye nnyo abakiise abavudde mu Lukiiko olw’ensonga ezo ezaayogeddwako olw’obuweereza bwabwe eri Obwakabaka; era n’abakyalimu Omutanda abeebazizza olw’obunnyikivu nga beetaba mu ntuula z’Olukiiko buli lwe bayitibwa ate era n’okuleeta ebirowoozo ebiyamba okuzimba Buganda mu lugendo lwe tuliko olw’okugizza ku Ntikko.
Ababaka abaggya bajja kufuna ebbaluwa ezibalonda ku bukiise bw’Olukiiko era Omukubiriza w’Olukiiko wamu ne Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’Olukiiko bajja kututegeeza enteekateeka eneeyitamu ababaka abaggya basobole okulayizibwa ate n’okweyanza mu maaso ga Ssaabasajja Kabaka.
Abalondeddwa n’abasangiddwawo mbaagaliza obuweereza obujudde ebibala.
Saabasajja Kabaka Awangaale.