• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ng’Obwakabaka Buddamu Okukakkalabya Emirimu, Katikkiro Akubirizza Abantu Okwongera Okwetangira Coronavirus

Gambuuze by Gambuuze
May 27, 2020
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Asiimye Abaweereza Wakati Mu Kirwadde Kya Coronavirus
0
SHARES
14
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Musasi waffe

Katikkiro Charles Peter Mayiga

Ng’Obwakabaka buddamu okukakkalabya emirimu oluvanyuma lw’emyezi kyenkana esatu ng’eggwanga liri ku muggalo olw’ekirwadde kya coronavirus, Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu obutaddiriza kukola ebyo byonna ebibatangira okufuna ekirwadde kino.

Mayiga era alambise engeri emirimu gyegigenda okuddukanyizibwamu okwetooloola Obwakabaka.

Wammanga bwebubakabwe mubujjuvu

Nga bwe mwawulidde, Omukulembeze w’Eggwanga yaddirizzaamu ku biragiro ebyateekebwa ku muggalo olwa ssenyiga Kolona.

Emmotoka ez’obuyonjo kati zikkirizibwa okutambula naye nga tezikkiribwamu bantu basukka basatu.

Olw’okuddirizaamu okwo, naffe twazzeemu okukola emirimu gy’obwakabaka mpola mpola nga tugendera ku nnambika etuweereddwa gavumenti ne minisitule ey’byobulamu okuva ku lunaku lwa jjo. 

Ba Minisita ba Kabaka n’abakozi abatonotono bagguddewo amakakkalabizo gaabwe nebatandika okuweereza.

Mu ngeri yeemu, ba ssenkulu ne ba nnankulu ab’ebitongole by’Obwakabaka ng’ogyeko amasomero n’amatendekero ebitannakirizibwa kuddamu kukola, basaana okukola enteekateeka ensaamusaamu egendera ku nnambika ya gavumenti ne minisitule esobozesa emirimu okutandikibwako mpola mpola. 

Mu nteekateka eno, abaweereza abakozesa entambula ey’olukale n’abaweereza abatali mu bifo bya nkizo nnyo, bajja kusigala eka okutuuka embeera lwe neegenda ng’etereera.

Mu mbeera gye tulimu tujja kuba tutandika okukola ku saawa 2:30 ez’okumakya ate amakakkalabizo gaggalibwe ku ssaawa 10 ez’olweggulo, kisobozese abantu okutuuka eka mu budde obwateekebwawo gavumenti era kafiyu abasange eka ku ssaawa 1:00 eyakawungeezi.

Mu ngeri yeemu nsaba Abaami ba Kabaka Ab’amasaza, Abamagombolola, n’emitendera egiddako okukola enteekateeka ebasobozesa okubeera mu mbuga zammwe n’okusisinkana be mutwala mu ngeri gye mulaba esoboka mu mbeera mwetuli.

Wabula kikulu nnyo Abaami bonna okuviira ddal ku ba Minisita n’abakulira ebitongole okubeera nga bawuliziganya n’abantu be batwala okubagumya n’okubazzaamu essuubi.

Mu mbeera eno eyaleetebwa ssenyiga Kolona, ebikozesebwa n’ensimbi bitono ddala awonno, nsaba abavunaanyizibwa ku by’ensimbi wonnamu Bwakabaka okukwata obulungi obusente obuliwo nga tubugabana ne bannaffe bonna.

Mu ngeri yeemu ebikozesebwa nabyo mbasaba mubikwate n’obwegendereza. Ate buli alinawo kyasobola okufissa akigabireko abo abali mu bwetaavu.

Kikulu nnyo okwongera okwetangira obulwadde bwa ssenyinga kolona, era abantu mu Uganda basaana okumanya nti bukyaliwo.

Ebiragiro ebituweebwa gavumenti n’abakugu mu by’obulammu bikaluubiriza naye byetaagisa.

Ssaasabasajja Kabaka bwe yali ayogera eri Obuganda  ku nsonga eno, yatugamba tugendere ku nnambika etuweebwa abakulembeze n’abasawo, bwentyo nkubiriza abantu  bonna abatalina  nsonga nkulu nnyo ebajja waka, basigaleyo, naddala abavubuka n’abaana abato; twongere okunaaba mu ngalo ne sabbuuni  buli budde nga tutuuse awaka; nga tugenze mu butale oba mu maduuka; tukuume obuyonjo mu maka ne mu bifo gye tukolera; twewale okukwata mu maaso, ennyindo ne mu kamwa; ate twesibe obukookolo ku nyindo ne ku mimwa.

Mmaliriza nga mbasaba okwekuumira mu bulamu obulungi n’okwewala obusambattuko mu maka nga Omutanda bwe yatukubiriza.

Mukole dduyiro so ate era mwewale mukenenya.

Mbasaba mwenna munyiikirire okukola mu mbeera eno enzibu gye tulimu, alina w’alima ateeketeeke bulungi ennimiro ye n’okulabirira ebirime.

Abalina ebitone eby’enjawulo nga abayiiya b’emizannyo, amazina, ennyimba babikozese nga bayiiya ebinaabagasa nga ssenyiga Kolona awedde.

Abali mu mirimu gy’emikono ng’ababazzi n’abazimbi, nabalala bwe batyo, abo bafeeyo nnyo ku mirimu gyabwe mu budde buno.

Nneebaza nnyo abaweereza bonna ababadde ku mirimu okuva lwe twaggalawo emyezi ebiri emabega.

Mu bano mulimu bannamawulire; ab’ebyokwerinda, n’abakuumi; abagoba b’ebidduka n’abo ababadde bakolera eka.

Bwetunaagendera ku biragiro ne nnambika y’abakulembeze n’abasawo, ssenyiga kolona tujja kumulinnya ku nfeete obulamu bwaffe buddemu okutambula nga bwe bwali.

Ssaabasajja Kabaka Awangaale…ng’Enkumbi ku Bbega.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.