Musasi waffe
Omukulembeze w’eggwanga Gen Yoweri Kaguta Museveni akawungeezi kaleero ayongezzaayo omuggalo okumala ssabbiiti emu okusobozesa abantu okwetegekera okuddamu okukola nga beesabisse obukookolo.
Museveni agambye nti emmotoka z’obuyonjo zaakuddamu okutambula nga May 26 at ez’olukale nga June 4.
Museveni agambye nit naye mu disitulikiti eziriranye ensalo zzo, entambula ey’olukale n’eyobwannayini siyakukkirizibwa okutuusa ng’obulwadde bwa coronavirus buweddeyo.
Musveeni yagambye nti okukkiriza abantu okutambula kiyinza okuleeta akatyabaga kubanga kizibu okumanya ani ali mu mmotoka.
Wabula ku bayizi ba P7, S4, S6, wamu nabo abali mu mwaka ogusembayo mu matendekero ababeera mu disitulikti zino, minisitule y’ebyenjigiriza yakubakolera enteekateeka enaabasobozesa okuddayo okuosma.
Museveni era asabye eb’ebyenjigiriza okukozesa ssabbiiti zino ebbiri okubaga enteekateeka enaagobererwa ng’abaana bazzeeyo okusoma.
Kyokka Museveni azzeemu n’akiggumiza nti teri muntu agenda kukkirizibwa kuva waka nga talina kakookolo.
Agambye mu ssabbiiti nga bbiri, gavumentiye egenda kuba emaze okugabira abantu bonna mask.