Musasi waffe
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akawungeezi ka leero alangiridde nti gavumenti ye yakugulira Bannayuganda bonna abalina emyaka mukaaga n’okwambuka obukookolo bw’okumaaso oba buyite mask mu kaweefube w’okutangira okusaasaana kw’ekirwadde kya coronavirus.
Mu bubakabwe ng’asinziira mu maka g’obwapulezidneti e Nakasero, Museveni yategeezezza nti okwambala mask gavumenti ye kwegenda okusinga okussa essira nga bwegezaako okuggya eggwanga ku muggalo ogumaze emyezi ebiri.
“Tufunye okwemulugunya nti abantu bangi tebasobola kugula mask kyetuva tusazeewo nti okusobozesa buli muntu okwambala mask gavumenti egenda kuzigaba okuva ku byalo mu sabbiiti bbiri,” Museveni bwyegaambye.
Bulyomu bwanaamala okufuna mask ng’olwo emmotoka ezoolukale zikkirizibwa okudda ku luguudo.
Kyokka zino zaakubeerangamu abantu kitundu kyabo abalina okuzitambuliramu okusobola okussa munkola enkola ya tonsemberera.
Emmotoka z’obuyonjo nazo zikkiriziddwa okudda ku luguudo naye nga zirimu abantu basatu bokka.
Kyokka nabano balina okwambala obukookolo.
Abayizi b’amasomero abali mu bibiina eby’akamalirizo nga P7, S4, S6 wamu n’ababali mu mwaka gwabwe ogusemba mu matendkero agaawaggulu nabo bakkiriziddwa okuddamu okusoma.
Abeebibiina ebirala Musevni abagambye bagira baba bagumiikiriza kubanga embeera tennadda mu nteeko.
At abavuzi ba boda boda bbo baakulindamu okuddamu okuweeka abantu kubanga kizibu okwawula omuvuzi ku musaabaze.
Aba saluuni, amabaala, ebiduula n’ebirala bbyo byekusigala nga biggale okumala ennaku 21.
Kafiyu naye alekeddwawo era nga bulijjo wakutandika ssaawa emu eyakawungeezi nakoma essaawa kumu nabbiri ez’okumakya.
Obukwakkulizo obulala bonna obwassibwawo bongezeddwayo okumala ennaku endala 21.