Musasi waffe
Poliisi ya Uganda erabudde abantu obuteetantala kwekalakaasi lwa kulwawo kwa mmere ya gavumenti okutuuka mu bitundu byabwe.
Bwabadde ayogerako ne Bannamawulire mu Kampala, Fred Enanga omwogezi wa Poliisi ategeezezza nti newankubadde batageera embeera y’abantu mwebali nti sinnungi, tebagenda kukkiriza muntu yenna kwekalakaasa kubanga kino kiteeka obulamu bw’abantu mu matigga.
“Okukungaana nti mwekalakaasa kyongera okuwa akakisa ekirwadde kya coronavirus okweyongera kusaasaana mu bantu. Tetugenda kukkiriza kwekalakaasa kwonna,” Enanga bwegambye.
Okwogera bino kiddiridde poliisi okukwata era neggalira omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu Dr Stella Nyanzi wamu n’omutegesi w’ebivvulu Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo lw’akwekalakaasa lwa mmere.
Ssabbiiti ewedde abantu ab’enjawulo mu bitundu eby’enjawulo nga Nansana, Tororo, Busia newalala beekalakaasa nga beebuuza lwaki gavumenti eruddewo okubawa emmere.
Okuva gavumenti lweyalangirira omuggalo yatandika okugabira abantu akawunga n’ebijanjalo. Wabula kyenkana emyezi ebiri bano bakyalemereddwa n’okumalako ebitundu by’e Kampala ne Wakiso.