Musasi waffe
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ayongezzayo okwogerakwe ku coronavirus okutuuse olunaku lwenkya.
Omwogezi wa Museveni, Don Wanyama mu bubakabwe ku mukutu gwa Twitter yagambye mukamaawe, wakwogerako eri eggwanga enkya kussaawa bbiri ez’ekiro.
Ono abadde wakwogera leero essaawa zeezimu.
Kyokka Wanyama tayayogedde nsonga lwaki okwogera kuno kwongezeddwayo.
Kuno kubadde kugenda kuba kwogera kwa mulundi 14.
Kisuubirwa nti Museveni wakulangirira okuddiriza kubiragiro byeyayisa emyezi ebiri emabega ku ky’abantu okusigala ewaka mukaweefube w’okulwanyisa nawookera wa coronavirus atigomezza ensi yonna.