Musasi waffe
Abatwala eby’okwerinda mu ggwanga olwaleero bategeezezza nti abantu bangi muggwanga tebakyassa biragiro bya gavumenti mu nkola kukulwanyisa ekirwadde kya coronavirus.
Bwabadde ayogerako eri olukungaana lw’amawulire ku ssengejjero ly’amawulire ga gavumenti liyite, Uganda Media Centre, Fred Enanga, ayoegerera poliisi ya Uganda, agambye nti abantu tebakyayagala kwambala bukookolo buyite mask, enkola ya tonsemberera nayo baagivaako dda nga naabamu kati bakwata bannabwe mungalo ate abandi n’eby’okunaaba mungalo babivaako dda.
“Ekirwadde kya coronavirus kikyalimu mu Uganda era tusaba abantu okugenda mumaaso ngabassa ebiragiro by’omukulembeze munkola kubanga kino kiriwo ku lwa bulungi bwabwe,” Enanga bweyagambye.
Yayongedde nti mu nnaku bbiri emabega, bakutte emmotoka 106 ne boda boda 82 lwakutambula ku luguudo mu bumenyi bw’amateeka.
Ate ye Frank Baine, ayogerera ekitongole ky’ebyamakomera yagambye nti bwebaagenzeeko mu bitundu ebyesudde Kampala baakizudde nti ebeeyo ebiragiro byonna ku coronavirus tebibakwatako.
“Bagamba Coronavirus bulwadde bwa Kampala naye tubategeeza nti buno obulwadde bukwata buli muntu,” Baine bweyagambye.
Ono era yalabudde abasirikale ebeenyigira mu kusaba abantu essente abakwatiddwa mu kujeemera ebiragiro bya Museveni.
Yagambye abo bebanaakwatako kajja kubajjutuka.
Abantu 248 bebakakasiddwa okuba nga balina coronavirus mu Uganda oluvanyuma lwa 21 okukeberebwa eggulo nebazuulwamu obulwadde.