Musasi waffe
Poliisi ya Uganda ng’eyita mu mwogezi waayo Fred Enanga etegeezezza nti omubaka w’e Mityana Francis Zaake yeetuusaako ebisago byalina.
Bwabadde ayogerako eri Bannamawulire ku ssengejjero lya gavumenti erya Media Centre mu Kampala, Enanga yategeezezza nti Zaake alina effujjo lingi mbu era bweyali akwatibwa yeekubanga ku bisenge wamu ne kumitayimbwa gy’emmotoka alabibwe n’ebisago olwo avumaganye gavumenti.
“Ayagala akwatibwe ekisa basobole okufuna ettuttumu ly’eby’obufuzi wamu n’okufuna obuyambi okuva ebweru,” Enanga bweyagambye.
Okwogera bino kizze oluvanyuma lw’olunaku lumu lwokka nga minisita avunanyizibwa ku nsonga z’omunda w’eggwanga Mario Obiga Kania ategeezezza palamenti nti kituufu Zaake yeyeetuusizzaako ebisago omuli n’okuziba amaaso.
Omubaka ono embulakalevu kati ali mu ddwaliro e Libaga gyajjanjabibwa.
Zaake yategeezezza ku mikutugye egy’enjawulo nti yatulugunyizibwa ebitagambika ab’ebyokwerinda abamusanga mu makage e Buswabulongo mu Mityana nga April 19.