Bya Musais waffe
Ng’eggwanga likyagenda mu maaso okuba ku muggalo olw’ekirwadde kya coronavirus, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asiimye abakozi abakyaweereza wakati mu kusoomoozebwa kuno.
Mu bubakabwe eri abaweereza mu Bwakabaka ku lunaku ensi yonna lwejaguza olunaku lw’abakozi, Mayiga agambye nti newankubadde kyetaagisa okusiima buli mukozi, naye abo abakyali ku mirimu banywedde mu banne akendo.
“Neebaza nnyo abaweereza b’Obwabakabaka; abaami ku mitendera gyonna, ba Ssenkulu ne Bannankulu b’ebitongole, wamu n’amakapuni ga Buganda wamu n’abakozi ku mitendera egy’enjawulo abafaayo ennyo okulaba nga Buganda edda ku ntikko,” Mayiga bweyagambye.
“Neebazaamu akeensusso abakozi baffe abali ku mirimu mukaaseera ka senyiga wa colona omuli abaweereza ba Ssaabasajja Kabaka mu mbiri, ab’ebyokwerinda, abagoba b’ebidduka, bannamawulire, n’abalala abataweddemu ssuubi mu kabi kano ketulimu,” Mayiga bweyagambye.
Yabasabye bonna okwekuuma obulungi basobole okusigaza obulamu obulungi wamu n’abantu baabwe basobole okudda ku mirimu egizimba eggwanga Buganda ne Uganda.
Ekirwadde kya senyiga wa coronavirus bw’osomera bino nga kyakawata bantu 81 mu Uganda kyokka nga ku bano abawonye bali 47.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asuubirwa okwogerako eri eggwanga ssabbiiti ejja mwanaweera ebiragiro ebipya ku butya eggwanga bwerigend mu maaso.