Abasirikale mukaaga okuli aba poliisi wamu n’amajje bakwatiddwa e Lugazi mu disitulikiti y’e Buikwe ku bigambibwa nti baakubye omuntu nebamutta.
Polly Namaye, omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, yategeezezza olukungaana lw’abannamawulire mu Kampala nti bano baasanze ekibinja ky’abantu nga banywa omwenge mubudde bwa kafiyu kyokka bonna ne badduka okuleka Gift Rogers Ocheing.
“Ono baamukubye emiggo era ekyennaku teyasobodde kuwona. Mukaaga ku basirikale baffe twabakuttedda kyokka ng’omu yadduse. Tusaba abakulira UPDF okutuymbako okumukwata,” Namaye bweyagambye.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yalabula abasirikale okukomya okutulugunya abantu baabulijjo newankubadde nga balina emisango gyebakoze.
Museveni yagamba nti teri muntu yenna alina lukusa okutulugunya Munnayuganda yenna.
“Lwaki mubakuba, bwaba akoze omusango gwonna mukwata omusibe,” Museveni bwe yagamba.
Okuva lweyalangirira ebiragiro by’okusigala ewaka mu kaweefube w’okulwanyisa okusaasaana kw’ekirwadde kya coronavirus, abantu bangi beemulugunyizza olw’abasirikale okubatulugunya nga n’abamu balumirizibwa okuyingira mu mayumba g’abantu.