
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ng’akozesa obuyinzabwe obumuweebwa ssemateeka wa 1995 akawaayiro 121, asonyiwe abasibe 833.
Okusinziira ku mwogezi w’ekitongole ky’amakomera, Frank Baine, bano ebibakwatako byakutegeezebwa eggwanga nga bimaze okutegeerekeka.
“Tujja kubabuulira ebibakwatako egyebujja eyo ku misingoki egibadde gibavunaanibwa nawa gyebabeera,” Baine bweyagambye
Museveni okukola kino kidiridde kaweefube wa gavumentiye gweriko okuziyiza okusaasaana kw’ekirwadde kya coronavirus mu ggwanga.
Amakomera ga Uganda agasinga obungi galimu omujjuzo ogwamanyi nga coronavirus namala agagwamu n’olukono asimba.
Kyokka newankubadde Museveni yasonyiye bano, Baine yategeezezza nti kati balina abantu abasoba mu 2000 abali mu makomera gabwe lwakujeemra biragiro kukuziyiza coronavirus.
Baine yategeezezza nti bakyalina ebifo ebimala awookukuumira abo bonna bakyaganye okuwuliriza gavumenti kyebagamba.
“Mukole buli ekisoboka okulaba nti temujja naye bwebanaabawereza nze awookubakuumira ninawo,” Baine bweyagambye.








