Bya Musasi waffe
Kaweefube wa Uganda okutuula ku nfeete ekirwadde kya Coronavirus yandijjamu omukoosi olw’omuwendo gw’abavuzi b’emmotoka abasala ensalo abamulina okweyongera.
Ku ntandikwa ya wiiki eno, abantu abalina Coronavirus mu Uganda baabadde 56, kyokka abavuzi b’ebimotoka musanvu abaakebereddwa baasangiddwa ne coronavirus kati omuwendo guli 63.
Okusinziira ku minisita avunanyizibwa ku nsonga z’omuwenda, Gen. Jeje Odongo, gavumenti etandise okusala entotto ku ki ki kyerina okukola.
Muno mulimu okukebera abavuzi b’emmotoka bano ku nsalo mbagirawo. Wabula kino Odongo yagambye nti kyetaagisa essente nyingi ddala.
“Tufuna abavuzi b’emmotoka 1000 buli lunaku, bw’ogattako abantu abasatu abakkirizibwa, kitegeeza nti oba olina abantu 3000 buli lunaku bwolina okukebera. Bw’ogattako doola 65 ezeetaagisa okubera omuntu omu, zino ssente nnyingi nnyo,” Odongo bweyagambye.
Mu birala gavumenti byerowoozaako kuliko obutakkiriza bavuzi bava mu mawanga amalala ku nyingira Uganda.
Ng’oli bwaggya ne’mmotokaye, agikwasa ddereeva Munnayuganda okugyongerayo.
Wabula kino Odongo yagambye kirina okuteesebwako n’amawanga ga East Africa amalala.
Kyokka nga gavuemnti ekyasalawo ku kyerina okukola, abavuzi b’ebimotoka bano bateereddwako ebiragiro wa webalina okusula okusobola okubatangira obuteetaba nnyo n’abantu babulijjo okubasiiga obuwladde.
Ekirwadde kya coronavirus kyakatta abantu abagenda mu 200,000 musi yonna.