Musasi waffe
Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’awa abantube bataano amayinja ag’omuwendo ng’emu ku nteekateeka z’okujaguza amazaalibwage ag’omulundi 65.
Bwabadde ayogerako leero eri Obuganda ku mbuga enkulu e Bulange e Mengo, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti ebadde nkola ya mutanda buli mwaka okubaako abantube basiima, olw’emirimu amatendo gyebakoledde Buganda, Uganda n’ensi yonna.
Mubano abasiimiddwa kuliko Paulo Kawanga Ssemogerere gweyeebazizza okuba munnabyabufuzi era omukulembeze omukuukuutivu ataasula buntu bulamu. Owookubiri ye Sheikh Hussein Rajab Kakooza olw’obukulembezebwe mu busiraamu n’okulafubana okugatta abagoberezi mu ddiini.
Owookusatu ye Rev. Samuel Kasujja omwawule eyabatiza Kabaka mu ssaza lye Ggomba gwe yayogeddeko nti afuddeyo nnyo eri eby’omwoyo bya Kabaka wamu n’abantu b’olulyo olulangira.
Owookuna ye John Yakuze munnamawulire omwesimbu eyanywerera ku nsonga za Buganda era n’akola obutaweera okulaba ng’ekitiibwa kya Namulond kiddawo.
Owookutaano ye Pulofeesa Josephine Nambooze Kiggundu ng’ono ye mukyala eyasooka okuba omusawo mu Uganda n’obuvanjuba bwa Africa.
Ono yakola omulimi guno n’amanyige gonna era yaliko minisita ow’ebyobulamu era omubaka w’olukiiko lwa Buganda.
Mayiga yagambye ng’embeera eteredde, wajja kubaawo omukolo kwebanaakwasizibwa amayinja gano.
“Olwaleero tubadde baakubeera Lubaga naye tekyasobose. Ejjo Ssaabasumba yasabidde Omutanda era n’amuweereza obubaka obumuyozaayoza,” Katikkiro bweyagambye.
Yasabaye abakulembeze b’eddini abalala okusabira Kabaka wamu n’eggwanga lyonna okusobola okuvuunuka obulwadde bwa COVID19.