Musasi waffe
Katikkiro wa Buganda, Oweek. Charles Peter Mayiga agambye Obuganda bwakukungubagira Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Kyaggwe eyawummula Alex Kigongo eyafudde enkya yaleero ng’embeera eteredde.
Mu bubaka bwe obw’okubikira Obuganda, Mayiga ategeezezza nti omugenzi Kigongo akutuse omutima bw’abadde agenze ku maduuka okugula amawulire enkya ya leero.
“Olw’embeera y’okwetangira obulwadde bwa Coronavirus, enteekateeka zikolebwa okuziika Omwami wa Kabaka ono mu bwangu. Embeera bw’enaatereera, tujja kutegeka tukungubagire munnaffe mu ngeri egwanidde,” Mayiga bwagambye.
Okusinziira kubiragiro bya gavumenti ebipya, kimenya mateeka abantu abasukka abataano okukungaana.
Mayiga yeebazizza nnyo omugenzi olw’enteekateeka zeyeenyigiddemu zonna okuzzaawo ekitiibwa kya Buganda.
“Omugenzi abadde musaale okukumaakuma Bannakyaggwe n’okubaweereza mu bunyiikivu n’okubazza eri Ssaabasajja Kabaka era essaza ly’e Kyaggwe ligenze nnyo mu maaso wansi w’obuweerezaabwe, tumusaaliddwa nnyo,” Mayiga bwagambye.
Ow’omumbuga era asaasidde nnyo mukyala wa Kigongo, Sarah olw’okuvibwaako munne naddala mu kaseera nga mutoowe naye yakafiirwa bba Pastor Paddy Kayiwa eyafiiridde e Bungereza.
“Akaseera kano kazibu era tusaba Katonda atunuulize amaakaago eriiso ery’ekisa,” Mayiga bwagambye.