
Ng’ekirwadde kya senyiga omukambwe amanyiddwa nga COVID-19 kigenda mumaaso n’okugoya ensi, wano mu Uganda omuwendo gw’abalwadde guweze 30.
Minisitule ekola ku by’obulamu yalangiridde nati abantu abasoba mu 200 abaakeberebbwa ku Lwomukaaga nga musanvu kubbo, bebaasangiddwa n’akawuka kano.
Bano webagattibwa ku 23 abaabadde bamaze okukakasibwa munaku eziyise, kino kitwala omuwendo kwa 30.
Eggulo minisita akola ku by’obusuubuzi Amelia Kyambadde yalagidde bannanyini bizimbe mu Kampala babiggala kubanga bikungaanirwamu abantu bangi.
Mu nsi yonna, abantu abalina COVID-19 kati batuuse 664,292 ngate abaakafa baweze 30,890.
Eggwanga lya Italy ne Spain gagasinze okufiirwa abantu nga abantu kumpi 16,000 ekitundutundu ku bafu bali mu mawanga gano abiri.
Ate yo Mu America, abalwadde gyebasinga, wosemera bino abantu 123,776 babaakayolebwa olumbulege ate 2229 bebaakafa.








