Obwakabaka bwa Buganda busse omukago n’ekibiina ekigatta abantu abaliko obulemu ku mubiri ekya Uganda National Action on Physical Disability [UNAPD] okulwanyisa akawuka ka mukenenya mu bantu abaliko obulemu.
Bwabadde assa omukono ku ndagaano eno, Minisita avunaanyizibwa ku nkulaakulana y’abantu n’ebyobulamu, Oweek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, yagambye nti Ssaabasajja Kabaka alina obuvunaanyizibwa bw’okulwanyisa mukenenya mu Buganda, Uganda ne mu Maserengeta ga Africa yonna.
“Omulimu guno munene naye agukutte kannabwala era ayagala kumalirawo ddala mukenenya mu bantube. Abantu bonnna Ssaabasajja Kabaka abaagala era talimu kusosola era atwala abantube bonna nga baamugaso,” Nankindu bweyagmbye.
Yayongeddeko nit basanyufu olw’abantu abaliko obulemu okuvaayo okukolagana n’Obwakabaka okulwanyisa siriimu.
“Nkakasa nti eddoboozi lya Ssaabasajja ku mukenenya lijja kutuuka kubantu bemukulembera mu Uganda,” Nankindu bweyagambye.
Yagaseeko nti obubaka ku mukenenya tebusosola mu bantu oba baliko obulemu oba tebaliiko kubanga mukenenya tasosola ng’akwata.
Kululwe, Apollo Mukasa eyataddeko omukono ku lwa UNAPD yagambye nti ebiseera ebisinga abantu abaliko obulemu batunuulirwa ng’abatasobola era ng’abateetaaga kuyambibwa, ekibaviirako okubonaabona.
“Ekitongole ng’ekyaffe kivaayo okulaba nti abantu bano bayambibwa, batunuulirwe ng’abantu abalina byebasobola okukola,” Mukasa bweyagambye.
Yayongeddeko nti bwebaawulira omulanga gwa Ssaabasajja Kabaka ogw’okulwanyisa akawuka ka sirimu baasalawo okumukwasizaako ng’abantu abalina obulemu.
“Abantu abaliko obulemu naffe akawuka katukwata kubanga naffe tugenda mu bikolwa by’omukwano,”Mukasa bweyagambye.
Endagaano eno egenda kukola ppaka 2024.