Poliisi ya Uganda eyongedde amaanyi mu bikwekweto okukwata abo bonna abajeemera ebiragiro by’Omukulembeze w’eggwanga ku kulwanyisa ekirwadde kya senyiga owa COVID-19.
Olwaleero, poliisi ekutte abasomesa 53 eb’essomero lya Daffodil erisangibwa e Naggulu wamu n’abalala 23 aba Kabojja Junior school erisangibwa e Kamwokya.
Bano bavunaanibwa okugenda mu maaso n’okusisinkana mu bungi ng’ate Museveni yalagira amasomero gonna gaggale okumala ennaku 32 ng’omu ku kaweefube w’okulemesa COVID-19 okusaasaana mu Uganda.
Ayogerera poliisi y’e Kampala n’emirirwano Luke Oweyesigire yagambye nti abasomesa bano baatwaliddwa ku poliisi ya Kira Road gyebaalabuliddwa obutaddamu kukungaana.
Poliisi era eggulo yakutte abasumba ab’enjawulo abaabadde bajeemedde ekiragiro kino ne bakungaanya abantu okusaba.
Muno mwabaddemu ne Vicar General w’essaza ly’Ekeleziya ekkulu ery’e Kampala Musingnor Gerald Kalumba.
Essabbiiti ewedde, Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yalangirira nti yali aweze enkugaana ezaabuli kika omuli ez’ebyobufuzi, okuziika, okusaba mu mizikiti n’amakanisa, okuggala amabaala n’obutale wamu n’ebintu ebirala bingi mu kaweefube w’okulwanyisa ekirwadde kya COVID-19.
Kyokka ku Lwomukaaga ekiro, minisita avunanyizibwa ku by’obulamu Jane Ruth Aceng yalangirira nti ekirwadde kyali kigobye mu Uganda. Munnayuganda amannya ge agaasirikirwa nga mutuuze w’e Kibuli yesangibwa n’ekirwadde kino oluvanyuma lw’okudda okuva e Dubai.