
Bya URN
Ekitongole ekivunanyizibwa ku byebigezo mu ggwanga ekya Uagnda National Examination Board [UNEB] kiyimirizza enteekateeka zaakyo ez’okuwandiisa abayizi abanaakola ebigezo bya kamalirizo mu omwaka guno
Kino kiddiridde omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ku Lwokusatu amasomero gonna okugaggalawo mu kaweefube w’okulwanyisa ekirwadde kya Coronavirus ekimaniyddwa nga Covid-19.
Kino wekijjidde ng’amasomero galagira abazadde abalina abayizi mu bibiina
ebyakamalirizo nga P7, S4 ne S6 okujja n’ebisale byonna eby’okwewandiisa nga
baddukira abaana.
“Okwewandiisa kubadde kwakutandika nga April 1 naye tukuyimirizza okutuusa ng’amasomero
gazzeemu. UNEB egya kutuula efulumye enteekateeka empya,” ekiwandiiko okuva mu
UNEB bwekyategeezezza.
Jennifer Kalule Musumba, ayogerera UNEB yagambye amasomero gabadde gatandise
okweraliikirira nti tegajja kusobola kuwandiisa baana baabwe.
Musumba yategeezezza nti abazadde ababadde bamaze okusasula ebisale by’okwewandiisa
batereke bulungi alisiiti zaabwe okusobola okwetangira amasomero gano okuddamu
okubasasuza.
Yayongeddeko nti bulijjo abakulira amasomero bajja essente ku bazadde wabula
nebagaana okuziwaayo ku UNEB.
Kalule yagambye nti ng’ekitongole tebannafuna ssente yonna okuva ku somero lyonna zakwewandiisa.
Omukulembeze w’eggwanga yalagira amasomero gonna okuggalawo okumala ennaku 32 ng’emu kungeri y’okwetangiramu obulwadde buno okusaasaana.
UNEB
era yalagidde n’abo bonna abaagala empeereza yaabwe omuli n’okusaba emirimu,
okukikola nga bayita ku mutimbagano baleme kugenda ku woofiisi yaabwe e Ntinda.








