Bya Musasi waffe
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye Buganda okudda ku ntikko ng’abantu baayo bakulaakulana, ebika byebirina okusoosowazibwa.
Okwogera bino Mayiga abadde ku kyeggulo ky’ekika ky’Olugave ekibadde ku Papaz Spot mu ggombolola y’e Makindye mu disitulikiti y’e Kampala.
Katikkiro yagambye nti ebika byebikola Buganda kubanga buli Muganda alina kyavaamu.
“Ebika bwebitadda ku ntikko, Buganda tesobola kudda ku ntikko kubanga ekinyusi ky’Obwakabaka bw’ebuwangwa n’ennono ebyesigamye ku bika. Ebika bwebitebenkera obulungi olugendo lw’okuzza Buganda ku ntikko lujja kuba lwangu,” Mayiga bweyagambye.
Yasiimye ab’Olugave olwakaweefube gwebaliko okusonda essente okununula ettaka ly’ekika kyabwe eryatundibwa bannakigwanyizi.
“Abaganda okuba n’obutaka kyekimu ku bitwawula ku mawanga mangi mu Africa. Ffe nga Abaganda, ettaka tetulyogerako boogezi ng’engombo. Kyassanyu nti musituse okulwanirira ettaka lyammwe, ennono yammwe, obuvo bwammwe.”
Mayiga era yasiimye nnyo Katikkiro eyawummula Oweek. Joseph Mulyanyammuli Ssemwogerere eyakuliddemu kaweefube w’okununula ettaka lyabwe.
Yabasuubizza okubawagira era bwatyo n’alagira Eggwanika Lya Buganda okubawa akakadde k’ensimbi kamu.