Musasi waffe
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asiimye nnyo ab’Emmamba olw’okugonjoola obutakkanya mu kika kyabwe obubadde bwagala okukiyuzaamu.
Oweek. Mayiga abadde asisinkanyemu Mubiru Ziikwa, ng’ono y’omutaka Gabunga akulira ekika ky’Emmamba wamu n’olukiikolwe olufuzi ku Bulange e Mmengo olwaleero.
“Twawulira ebintu mu kika ky’Emmamba nga biringa ebikiyuuya era bwennafuna ebbaluwa y’Omutaka n’ensanyuka okukamala era kwekumusaba nti embeera nga bwetereezeddwa andage ku lukiiko olufuzi n’Obuganda butegeere nti mu Mmamba teriiyo mbojjanyi,” Oweek. Mayiga bweyagambye.
Yategeezezza nti abantu bulijjo babeera n’ebisoomooza wabula kyetaagisa okubikwata mu ngeri yampolampola ng’abaana ab’enda emu.
“Wewaabaawo omuntu alina kyayagla okutereeza mu Mmamba, tetwagala ayite b’amawulire ng’enteesaganya zigenda mumaaso kubanga ebyo biba tebikyali by’amunju. Ndowooza nga wabaddewo ensonga, ow’Emmamba yandisoose ku gitwala ku mbuga yakika. Naye buli lwetunaaba n’ebitusoomooza netukkungaanya Obuganda bonna tububuulire ensi tejja kutereera bulungi kuba ebika kwetuyimiridde,” Mayiga bweyagambye.
Yagasseeko nti nga Ssabasajja Kabaka ali mukuteereeza endooliito mu bika, tekisanyusa okuwulire nti ab’Emmamba, ekimu ku bika ebisinga obuguundiivu mu Buganda ate nga kyesunaasuna.
Ku lulwe, Katikkiro w’ekika Mulindwa Kagendwa yalambululidde Katikkiro ensibuko y’obutakkanya mu kika.
Yagambya nti nga 8/2/2020 Omutaka Gabunga yatuuza olukiiko lw’ekika era naawe ebiragiro ekika kwekirina okutambulira nga muno mwalimu n’okulonda olukiiko olufuzi olupya.
“Omutaka George Ssenkaali n’abalala batuuza olukiiko n’ebayisa ekiwandiiko ekiyimiriza olukiiko lwa Gabunga nga tebamuwadde mukisa kutunula mu nsonga eno. Kino kyaleetawo ensasagge nnene mu mu kika naye njagala okukukakasa nti ekika kiteredde era olukiiko Gabunga alulinamu obwesige okuddukanya ekika,” Kagendwa bweyategeezezza.
Yagaseeko nti ekika ky’Emmamba kitambulira ku nnono n’enkulaakulana era kigezaako okulaba nti Ssaabasajja byabalagira babikola.
“Ekika ky’Emmamba kitebenkedde wewaawo tulina okusoomoozebwa kubanga bulyomu alina endowoozaye mu ntambuza y’ekika. Tukwebaza obuwagizi n’okusoosowaza ekika ky’Emmamba. Tuli mabegawo mu nteekateeka zonna z’oliko okukulaakulanya Obuganda,” bwatyo Kagendwa bweyasiimye Katikkiro Mayiga.