
Bya URN
Abavuzi ba takisi abakolera mu ppaaka ya Usafi olwaleero zazinzeeko ekitebe kya KCCA mu Kampala okulaga obutali bumativu bwabwe olw’okubaawo bannabwe abakolera wabweru wa paaka.
Bano bavunaana abakulira ekitongole kya KCCA okulemererwa okussa munkola ekiragiro kyabwe ekigaana takisi zonna ezikolera ku luguudo lw’Entebe okubeera mu ppaaka.
KCCA mu Mukulukusabitongotungo w’omwaka oguwedde yayise ebiragiro ebipya ebijja
takisi zonna eziri ku siteegi y’e Kajjansi, Zana, Namasuba, Kasenyi, Ndeeba,
Sembuule, Kibuye Queens way ne Ndejje okuva mu ppaka enkadde okudda mu Usafi park.
Kyokka takisi ezimu zaasigala ku luguudo lwa Nasser, ku kibangirizi ky’eggali y’omukka,
wamu ne mu paaka enkadde yennyini.
Joseph Kato, omuvuzi wa takisi yagambye nti okugenda mu maaso n’okuzimuula ekiragiro kya KCCA nga takisi ezimu zisigala ku nguudo kireetera abasaabaza obutagenda mu Usafi, ekintu ekibafiiriza.
Twaha Wakirobo, naye omuvuzi wa takisi agamba olunaku agenda Entebbe emirundi
ebiri gyokka kubanga waliyo takisi nnyingi mu ppaka.
Ono agamba bw’osaako 6000 kaasasula buli lutikka, aba tasigazaawo yadde akasente k’okuwa nnanyini takisi.
Bano baagala KCCA ebiyingiremu egobe abo bonna abaasigala ku nguudo okugenda mu Usafi buli muntu asobole okukola.








