Musasi waffe
Minisita wa Ssaabasajja Kabaka akola ku nsonga z’abavubuka emizannyo, n’okwewumuza, Oweek. Henry Ssekabembe Kiberu agambye nti abavubuka balina okukomya okwekubagiza okusobola okwanganga ebizibu byebalimu ensangi zino
Oweek. Ssekabembe bino abyogeredde mu ssaza Mawokota, gy’ali mu nteekateeka y’okulambula amasaza ag’enjawulo okwetegereza emirimu egikolebwa abavubuka.
“Tulina okuzimba obukulembeze okuva wansi wamu n’okukolagana n’abantu, tuwumuze ebitiibwa. Bwetutaazuukuke, Abaganda mujja kusima kabuyonjo, mujja kugenda mu bitundu ebirala mulime mu nsuku. Olwaleero Abaganda mwemusinga ku nnyonyi nga mugenda mu mawanga ga Bawalabu okukola, kubanga muganye okwenganga ekintu ekikulu mu kukyusa ensi; ekyendowooza.”
Oweek. Ssekabembe abadde asisinkanye olukiiko lw’abavubuka olujja olwalondeddwa Kayima, omwami w’essaza ly’e Mawokota.
Ssentebe omuggya ye Mukeere Abdul-Karim nga Ssentebe wa Bavubuka abawala ye Nambogga Evelyn.
Minisita asoose kulambula ennimiro e Kampiringisa ng’eno eri wansi wa Minisitule y’ekikula ky’abantu mu gavumenti ya wakati.