Musasi waffe
Minisita avunanyizibwa ku bavubuka, emizannyo n’okwewumuzza Oweek. Henry Ssekabembe Kiberu agambye abavubuka bave mukwekubagiza wabula bakole lwebanaasobola okwejja mu bwavu.
Oweek. Ssekabembe abadde mu Ssaza lya Kabaka ery’e Buddu mu kulambula abavubuka kwamazeeko ennaku ebbiri.
Ssekabembe agambye buli muntu alina olubimbi lwe munkulaakulana ya Buganda ne Uganda okutwalira awamu.
“Mukomeewo tutandike okukola n’amanyi gaffe, ensi tegenda kukoma mu 2021. Buli lwemulengeranga embeera ey’akatyabaga, tokunganya nga mmere oba eddaggala, wabula birowoozo n’amagezi,” Ssekabembe bwagambye.
Ayongeddko nti Buganda egenda ku ntikko buli muntu alina kyagenda okukola okugituusaayo.
“Tuli mukusoomoozebwa okungi naye nga tetwesaasidde, tulina okunywera okukolera awamu nga tukola omulimu gwonna,” Ssekabembe bwagambye.
Ng’ali e Buddu, Oweek. Ssekabembe atuuseeko mu bifo eby’enjawulo.
Muno mwabaddemu olukiiko lwa disitulikiti y’e Masaka gye yayogeredde ne ba kansala.
Ssettendekero wa Muteesa 1 Royal University gyeyasisinkanidde Abavubuka ba Nkobazambogo okuva mu matendekero n’amasomero mu Buddu.
Ssekabembe era ayogeddeko n’abavubuka ba Buganda Youth Council, wamu n’okwewumuza nabo ku Rugby Grounds e Masaka.
OLwaleero, Ssekabembe alambudde ettaka ly’e mbuga ye Ggombolola e Lwengo, n’akyalira abavubuka abalina kebeekoledde nga muno mubaddemu Sserwadda Isa akuba amataffaali, asima omusenyu, ensuku zamatooke nga akozesa abavubuka abasukka 150, wamu ne Andrew Matovu Kabulasoke ng’ali mu by’akubangula abavubuka ngakozesa ebyuma bikalimagezi.
Ssekabembe era yeetabye mu kusaala Juma mu muzikiti omukulu mu Masaka.
Okulambula kuno kwetoololedde ku mulamwa omukulu og’okukubiriza abavubuka okukola, okunyweza enkola y’obwegassi wansi wa Essuubiryo Zambogo Sacco munkola eya Kola, FISA, Tereka, Siga.