Musasi waffe
Ng’ennaku z’omwezi 5 Apuli, Omuganda gwayita Kafumulampawu, Obuganda bwonna bwakukungaanira mu Lubiri e Mmengo nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asimbula abaddusi abaneenyingira mu misinde mubuna byalo.
Ssaabasajja Kabaka ajja kuba ajaguza okuweza emyaka 65 egy’amazaalibwa.
Kati no, olwalweero, Katikkiro Charles Peter Mayiga asiinzidde ku Bulange Mmengo, n’atongoza emijoozi omunaddukirwa.
Oweek. Mayiga agambye nti musanyufu nnyo olw’emikago gyebazimbye kubanga gibafuula baamanyi okusinga bwebabadde.
“Kansuubire nti betukolagana nabo tubafuula baamanyi era tuli beetegefu okugenda mu maaso n’emikago gino kubanga ffenna tufunamu. Nkubiriza abantu okwenyigira mu misinde gino,” Mayiga bwagambye.
Ayongeddeko nti okuzza Buganda ku ntikko Kabaka kyayagala wabula nga kino tekijja kusoboka singa abantu be sibalamu.
“Omulimu gwaffe kuzimba Buganda eyeeyagaza emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka ginyweza ennono zaffe ate nezitandika Olugendo olututwala ku ntikko,” Mayiga bwagambye.
Oweek. David Mpanga, ssentebe w’akakiiko akategeka amazaalibwa ga Kabaka agambye nti emisinde gy’omwaka guno gigenda kwetooloolera ku mulamwa g’okulwanyisa siriimu.
Agambye nti ng’ogyeko emisinde, wajja kubaawo olusiisira lw’eby’obulamu nga Apuli 8 wamu n’ekyoto ky’ebyobulamu nga 8 Apuli.
Entikko y’emikolo yakubeera ku Lutikko e Lubaga era nga gyakukulemberwamu okusaba Katonda okw’ongera Kabaka obulamu.
Mpanga yeebazizza abavujjirizi byebakoze okutegeka emisinde gino omuli Airtel, DFCU bank ne Uganda Revenue Authority.
Kululwe, VG. Somasekhar akulira Airtel agambye nti
omwaka guno baagala okutuuka ku buli muntu n’asaba bulyomu ku lunaku olwo obutabaako kyakola okusobola okujja okwenyigira mu nteekateeka y’okulwanyisa mukenenya mu Uganda.
“Omukago gwaffe n’Obwakabaka gubadde gugenda gukula buli mwaka era tukakasa nti tujja kugenda mumaaso n’okuwagira Obwakabaka wamu n’okuwagira olutalo lw’okulwanyisa siriimu,”
Omukungu Mathias Katamba okuva mu bbanka ya DFCU agambye nti
Obwakabaka bwa Buganda okwenyigira mu lutalo lw’okulwanyisa siriimu kyamugaso nnyo kubanga abantu abatali balamu tebasobola kukulaakulana.
“Twagala okukyusa eby’enfuna by’eggwanga lino naye kino tekisoboka singa abantu tebababa balamu. N’olwekyo, fenna tulina omulimu gw’okukola mu bulamu bwabantu,” Katamba bwagambye.