Musasi waffe
Obwakabaka bwa Buganda nga buyitira mu kitongole kyabwo ekya Bucadef busse omukago okutumbula ekirime ky’emmwanyi n’ekitongole ekikulaakulanya abantu okuva mu gavumenti yawakati ekya Skills Development Foundation nga kiri wamu ne Private Sector Foundation, ekitongole ky’abannakyewa ekikuulakulanya abantu abalina byebekolera mu Buganda.
Bwabadde ayogera oluvanyuma lw’okussa omukono ku ndagaano ey’obukadde 70, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti kizzaamu amanyi nti bannamikago bavuddeyo okubayambako okutumbula embeera z’abantu ba Buganda.
“Obwakabaka busoosowaza abantu era wewabaawo enkulaakulana mu byalo ensi esituka. Tulina okweyambisa eby’obuwangwa n’ennono zaffe okuleeta essanyu mu bantu baffe. Omuntu wabulijjo okubaako kye yeekolera nabaako kyayingiza nasobola okulabirira abantube okubeera n’amaka amalungi,” Katikkiro bwagambye.
Munteekateeka eno, abalimisa mu kitongole kya Bucadef 30 okuva mu ggombolola 30 bakusomesebwa ennima y’emmwanyi ennungi. Bano nabo buly’omu waakusomesaayo abantu abalala 30. Enteekateeka eno wenaggwera, ng’abantu 900 be babanguddwa.
Katikkiro asiimye nnyo enteekateeka eno n’agamba nti omuntu analwanyisa obwavu alina kuyitira mu byabulimi.
“Omukago guno gwetusse tujja kugukwata bulungi musanyuke naffe tusanyuke. Twagala abalimisa babeere bakugu, teri kintu kyabulabe nga musomesa ow’ekiboggwe,” Mayiga bwagambye.
Ku lulwe, minisita omubeezi avunanyizibwa ku by’obulimi Oweek. Amisi Kakomo, agambye ng’eggwanga ekirime ky’emmwanyi ky’ekintu kyetulinamu omukisa Katonda kyeyatuwa.
“Obwakabaka bwasalawo tuddemu tukinnyikize era mu myaka ebiri egiyise, tusimbye endokwa z’emmwanyi obukadde 10 ze yikka 15,000. Ekimu kubisinze okutusomooza bubadde bukugu ng’abalimi baffe balina omutima ogukola naye nga babulamu obukugu okukola ebintu ebituufu ku saawa entuufu,” Kakomo bwagambye.
Akolanga ssenkulu wa Bucadef Omwami Muwanga Samuel agambye nti beetegefu okukolagana n’ekitongole kyonna ekirina ebigendererwa ebimu n’Obwakabaka okusitula omutindo gw’obulamu bw’abantu ba Kabaka.
“Twagala okusitula Obukugu bw’abalimi b’emmwanyi mu Buganda basobole okulima emmwanyi ez’omutindo ate nga nnyingi ddala basobole okuzitunda bafune ensimbi eziwerako,” Muwanga bwagambye.
Ayongeddeko nti ng’ekitongole, beeteefuteefu okukolagana obulungi nebannamikago okutuukiriza ekigendererwa ky’okujja abantu mu bwavu.
Ku lulwe, Ruth Biyinzika akulira enteekateeka eno mu PSFU agambye ekitongole kyabwe kino tekitunuulira ddiini, oba byabufuzi by’abantu wabula enkulaakulana.
“Bankwasa ensawo ng’erimu obuwumbi 90 era nga wenjogerera kati tugenda kufunayo endala. Ebitongole byonna bigasa ffe era twagala mubyeyambise. Enteekateeka bweziti nnyingi nnyo mu Uganda naye abantu abasinga tebazimanya ne zibayitako,” Biyinzika bwagambye.