Musasi waffe
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akunze abantu ba Buganda wamu ne Bannayuganda okubeera obulindaala okwewala okukwatibwa ekirwadde kinnamutta ekya Corona virus.
Ekirwadde kino ekijja nga ssenyiga kyamutawaana ddala kyatandikira mu ggwanga lya China gye kyakatugumbula abantu abasukka mu 3000.
Ekirwadde kino wetwogerera bino nga kisasaanidde mu mawanga amalala 28 okwetooloola ensi yonna.
Wano ku lukalu lwa Africa ekirwadde kino kyazuuliddwa mu Nigeria ne Algeria. Ewalala kiri Iran, America, Brazil, Italy, South Korea n’amawanga amalala bangi.
Nga ayogerako ne Bannamawulire ku Bulange e Mmnego, Oweek. Mayiga akubirizza abantu okwekengera obulwadde buno.
“Tukubiriza abantu okunaaba mu ngalo lunye ne ssabbuuni. Buli mukisa gwonna gw’ofuna gukozese Bwoba olina akadagala akatta obuwuka, keyambise emirundi egiwera naye naatalina sabbuuni anaabe mungalo,” Mayiga bwagamabye.
Asabye abantu bonna mu bitongole eby’enjawulo mu makakkalabirizo bagateekemu akalagala akatta obuwuka.
“Nsabye bateeke akalaga ako ku wankaaki wa Bulange, awatuukirwa abagenyi ne mu mawoofiisi eg’enjawulo,” Mayiga bwagambye.
Asabye nti bwekiba kisoboka abantu bandyewaze okubeera mu bifo ebirimu abantu abangi, okugwangana mu bifuba n’okusikangana mu mikono.
Ebirala agambye nti bw’osanga omuntu nga ayokerera, kisaanidde okugenda ew’omusawo mbagirawo okukebera okulaba oba bulwadde bwa Coronavirus.
“Twagala tube balamu okusobola okuzza Buganda ku ntikko,”