
Musasi waffe
Omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’enzirukanya y’emirimu n’obuyiiya, Oweek Prof. Twaha Kigongo Kaawaase atongozza Film etuumiddwa “Butambala Kingdom” eyazannyibwa ab’ekibiina kya ‘New Edge Cinema’ ku mukolo ogubadde ku Batvalley theatre mu kiro ekikeesezza olwa leero.
Bwabadde atongoza, Oweek. Kaawaase asabye etteeka lya Copy Right Law linywezebwe kisobozese banna katemba n’abazannyi ba film okuganyulwa mu ntuuyo zaabwe.
Agambye nti kibi nnyo okulaba nga abayiiya b’emizannyo bafuna katono ate omuntu nayozamu bwoza naafuna kingi.
Yeebazizza abazannyi ba film eno olw’obubaka obuyigiriza abantu naddala mu by’obuwangwa n’ennono bwebatadde mu film yabwe.
Mu ngeri yeemu abeebazizza okusomesa abantu ku bikwata ku bulwadde bwa mukenenya nga booleka emiwaatwa egisaana okuggalwa egisudde Bannayuganda mu katyabaga ka mukenenya.
Omukolo gwetabiddwako Minisita w’amawulire era Omwogezi w’obwakabaka Oweek. Noah Kiyimba, abakungu ba Kabaka ne banna katemba abawerako.









