Bya URN
Kkooti enkulu mu Kampala esazizzaamu ekibonerezo
kya kkooti ento eyali yasingisizzaa omusomesa w’e Makerere Dr Stella Nyanzi
omusango gw’okumalako omukulembeze w’eggwanga eddembe nga yeyambisa emikutu gya
yintaneeti. Omulamuzi wa kkooti enkulu Henry Peter Adonyo yagambye nti kkooti
ya Buganda Road teyalina buyinza buwozesa Nyanzi era n’eragira ayimbulwe
bunnambiro okuva mu kkomera e Luzira gyamaze ebbanga ly’myezi 16. Ono yali
yakaligibwa ku kibonerezo kya myezi 18.
Nyanzi yakwatibwa olw’okuwandiika ekitontome ku mukutu gwe ogwa Facebook mbu
nga kivvoola omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni wamu ne maamawe
omugenzi Esteeri Kukondeka.
Kyokka Nyanzi teyamatira na nsalawo ya Kkooti eyali ekulemberwa omulamuzi
Gladys Kamasanyu era bwatyo kwekujulira ng’ayita mumunnamateekawe, Isaac
Ssemakadde.
Omulamuzi yakirizza nti ddala eddembe lya Nyanzi lyalinyirirwa oluvanyuma lwa
kkooti ento okugaana okumuwuliriza. Kyokka wabaddewo akasambatukko nga Nyanzi
ateebwa oluvanyuma lw’abasirikale b’amakomera okuddamu ne bamukwata okumuzaayo
e Luzira mbu okusobola okussa omukono ku mpapaula ezimuta. Poliisi yakubye
amasasi wamu ne tiyagaasi okusobola okugumbulula abawagizi ba Nyanzi ababadde
beesomye okumutwala.