Bya URN
Omukulembeze w’ekisinde ky’eby’obufuzi ekya People Power era omubaka wa palamenti akiikirira Kyaddondo ey’obuvanjuba, Robert Kyagulanyi, amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine waakuddamu enkiikoze ez’okwebuuza ku bantu nga yeeteekateeka okwesimbawo okuvuganya ku bwa pulezidenti omwaka ogujja.
Okusinziira ku nteekateeka empya, Kyagulanyi
wakutandika enkungaanaze ku bbalaza esabbiiti ejja nga wakuzitandikira mu
Kampala ku wooteeri ya Pope Paul mu Ndeeba.
URN erabye ku kkopi y’ebbaluwa Kyagulanyi gye yawandiikidde
Ssaabapoliisi Martin Okoth Ochola ng’ebategeeza ku nteekateeka empya.
Omwogezi wa People Power, Joel Ssenyonyi yagambye nti enkiiko
zaabwe zataataganyizibwa poliisi nga tewali nsonga yonna newnakubadde nga
akakiiko k’ebyokulonda kaali kabakkiriza okugenda mu maaso n’ekiiko zino.
“Tugoberedde buli tteeka kyerigamba era netutegeeza poliisi gyetulinze etuddemu oba balina okwemulugunya konna. Ffe tugenda genda mumaaso n’eteekateeka zaffe,” Ssenyonyi bweyategeezezza.
Bobi Wine kululwe yagambye
nti oluvanyuma lwa poliisi okubagumbulula buli gyebalaganga, baasisinkana
akakiiko k’ebyokulonda okugezaako okutuuka ku nzikiriziganya era basubira nti
omulundi guno tewagenda kubaawo kanyoolagano konna.