Bya URN
Omubaka wa gavumenti atuula mu disitulikiti y’e Bukwo esangibwa mu buvanjuba bwa Uganda, Tom Chesoi agambye nti enzige ezaabalumba ku Lw’okubiri wiiki ewedde nga ziyitira e Kanyere mu ssaza ly’e Pokot erisangibwa e Kenya zibabuzizzaako obwekyusizo.
Wosomera bino nga enzige zino ziri mu magombolola okuli
Muteshet, Kabei, Riwo, Kamet Kapsiywo, Kabokwo ne Kameti.
Okusinzira ku Chesoi, enzige zino mpitirivu. Yagambye nti ekibinja okuva mu ggye lya UPDF wamu n’abasirikale b’eggye ekkuma byalo batuuse dda mu kitundu kino okugezaako okufuuyira enzige zino kyokka n’omulimu gulabika munnene nnyo okusinziira ku busobozi bwabwe.
Munnamaggye Brigadier Stephen Oluka, akulira okukola ku
bibamba mu woofiisi ya Ssabaminista yategeezezza URN nti ekibinja kyasindikiddwa
dda mu bitundu ebirimu enzige zonna nti era basuubira nti essaawa yonna baggya
kusobola okuzituula ku nfeete.
Enzige zino zaabulabe nnyo naddala ku bimera era mu saawa
ntono ddala ziba ziridde ebikumi n’ebikumi bya yiika z’ennimiro.