
Musasi waffe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II agambye nti okufa kwa Dr Simon Kagugube abadde omu ku bakulembera banka ya Centenary, kulese eddibu ddene nnyo eri Buganda.
Mu bubakabwe mu kuziika Kagugube obumusomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Kabaka asaasidde nnyo bamulekwa ne ba maama baabwe olw’okufiirwa kitaabwe.

“Mungeri ey’enjawulo tusaasira eb’enju y’abagenzi Joseph Sseguya ne Solome Kateesigwa olw’okufiirwa omwana. Omugenzi tubadde tumumnayi bulungi era nga tumwenyumiririzaamu olw’emirimu gye n’ebitone bye ebingi,” Kabaka bwagambye.
Omutanda ayongeddeko nti mu mirimu gye n’obukugu bwabadde nabwo, Kagugube alese omukululo mu buli kitongole gy’akoledde.

“Omugenzi abadde wakisa, ayamba era akolagana n’abantu aba buli ngeri abadde assa ekitiibwa mu bwakabaka n’ennono era akulembedde bulungi omutuba gwa Kanyavvu mu kika kye Ngabi mu ssiga lya Muwonge e Jjalamba,” Kabaka bwagambye.
Nannyinimu era akubagizza nnyo omutaka Nsamba, akulira ekika kye Ngabi wamu n’abekika bonna olw’okufiirwa omu ku bataka abamaanyi.

“Twebaza Katonda olw’obulamu bwe n’emirimu gy’amukozesezza. Tusaba mukama Katonda abagumye mu buyinike,” Obubaka bw’Omutanda bwe busomye.
Ku lulwe, Oweek. Mayiga agambye nti obulwadde bwa Kagugube yabuwulirako naye natakitwalanga ekikulu.
“Ekyaddirira kwe kufuna essimu ku lw’omukaaga nti afudde era singa eyankubira nali simwesiga, sandiikkirizza,” Mayiga bwagambye.
Atenderezza nnyo omugenzi olw’okuba omuntu w’abantu akoledde ennyo ensi ye.
“Singa Kagugube tabaze bibala twandibadde tugamba nti omusajja eyasomera e Kisubi, eyayitako e Makerere, omusajja eyagenda e Yale nabeerawo nga talina kye bamujjukirako,” Mayiga bwagambye.
Kagugube yafiiridde ku myaka 65 egy’obukulu era ng’alese bamulekwa ne bannamwandu.









